Amawulire
Eyawamba abaana wakukola bulungi bwa nsi
Omukyala eyakkirizza omusango gw’okuwamba abaana ba muggya we basatu aweereddwa ekibonerezo kyakukola bulungi bwa nsi.
Jamirah Nabatanazi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Mwanga 2 , Morris Ezra Obura n’amusalira ekibonerezo.
Omulamuzi agambye nti omukyala ono alaze nti aboneredde, ate nga tazzanga ku musango munene okwo kw’ossa n’obutamala budde bwa kkooti.
Omukyala ono alagiddwa okuyonja ofiisi za divizoni ye Rubaga buli lunaku okumala essaawa bbiri.
Nabatanzi yetoowaza eri kkooti n’ategeeza nti yali tayagala kulumya baana kyokka nga yali ayagala kukwatirako eyali bba eyamuzaalamu omwana n’amusuulawo
Abaana abawambibwa kulino Rebecca Wamboka, Rachael Muduwa ne Marion Matenza nga bonna bayizi ku ssomero lya City Parents.