Amawulire
Eyayokebwa aci ayongera kuba bubi
Abantu basatu abagambibwa okuyiira omusuubuzi w’omu kampala acid ku luguudo lwa Northern Bypass baddiziddwaayo ku meere e Luzira.
Irene Namanda yayiirwa acid bweyali ne bba nga bava okutuuma bebi waabwe erinnya era nga kino kyabaawo ng’omwaka oguwedde guggwaako
Abasatu bano kuliko ne bba w’omusuubuzi ono Kassim Kakaire gwebalumiriza okwagaala okutta mukyala we olwo yezze emmaali ye
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi we Nakawa David Mafabi abalagidde bagira badda e Luzira okutuuka nga 19 omwezi guno.
Munnamateeka wa gavumenti Doreen Erima ategeezezza ng’okunonyereza bwekukyagenda mu maaso nga y’ensonga lwaki babadde tebakyasobola kugenda mu maaso.
Munnamateeka ono agambye nti omukyala gwebayiira acid akyaali bubi nga kati n’amaaso gavuddemu nga n’olususu lwe lugagambuka lwokka.