Amawulire

Eyazaalibw an’amagulu ataano asiibuddwa

Ali Mivule

June 20th, 2014

No comments

Mulago hospital

Omwana eyazaalwa n’amagulu ataano asiibuddwa okuva mu ddwaliro e Mulago.

Abakugu mu ddwaliro e Mulago bamwekebezza era bakadde be nebabawa omwezi gumu okukima ebinaava mu kukebera

Bazadde b’omwana ono okuli Boniface Okongo ne Margaret Awino bagamba nti omwana ono ali mu mbeera nnungi nga kati balinda nsimbi za kulongoosa mwana ono.

Omwana ono bamuzaala ku kyaalo Nabijingomu gombolola ye Bulinda e Bugiri district.