Amawulire
Fayilo ka Kasolo Kkooti esabye eddemu egy’etegereze
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ejulirwamu ewandiikidde kkooti enkulu mu Kampala ngegisaba eweereze fayilo ya Kopoliyamu Kasolo omuli ensala ne kibonerezo kyokusibwa obulamu bwe bwona ekyamuweebwa kkooti enkulu gyebuvuddeko oluvannyuma lwokumusingisa omusango gw’okutemula Maria Nagirinya ne Dereeva we Ronald Kitayimbwa.
Nga October 19th 2023 omulamuzi wa kkooti enkulu Isaac Muwata yakaliga Kasolo ne munne Johnson Lubega okusibwa obulamu bwabwe bwona bweyakizuula nti omupango gwokutemula abantu bano gwalukibwa ababiri bano ne baguyingizaamu abalala.
Mu ngeri yeemu kkooti yawa ekibonerezo kyakusibwa myaka 30 eri; Sharif Mpanga, Nasif Kalyango ne Hassan Kisekka abaali abavuzi ba bodaboda ab’avuga Kasolo ne munne okugenda okutemula abagenzi.
Kasolo yajulira ensala Eno ngagamba kkooti teyasensula bulungi bujulizi bweyagiwa, era wano kkooti ejulirwamu wevudde newandiikira kkooti enkulu negiragira eweereze kalonda yenna eyetaagisa ku fayiro yomusango guno bunnambiro.
Nagirinya ne Dereeva we batemulwa abantu abaali batambulira ku pikipiki nga kyaddirira bano okuwambibwa mu bitundu bye Lungujja ate oluvannyuma emirambo gyabwe negizuulwa mu kitoogo ekimu mu District ye Mukono mu mwaka gwa 2019