Amawulire
FDC eyagala gavt eyonnyole wa Uganda wefunira okusindika amaggye e Congo
Bya Damali Mukhaye,
Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change kiwadde pulezidenti Museveni ne palamenti omulimu okunnyonnyola engeri Uganda gy’egenda okuganyulwa mu kuyiwa amaggye ga Uganda mu DR Congo.
Abajaasi ba UPDF 5,000 nga bakulembeddwamu Col Michael Walaka wiiki ewedde baasimbiddwa bendera okugenda ku misoni mu kitundu ky’e Rutshuru ekisangibwa mu ssaza lya North Kivu awali obutali butebenkevu.
Pulezidenti Museveni, mu kiwandiiko kye yafulumizza agamba nti maggye ga UPDF gagenda kulwanyisa omulabe we mirembe mu buvanjuba bwa DRC anaagaana okussa mu nkola endagaano y’emirembe etabaganyizibwa abakulembeze b’amawanga ag’omukago gwa East Africa.
Kati bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za FDC e Najjanankumbi, amyuka omwogezi wa FDC, John Kigonyogo agambye nti mu 2022, obuwumbi bwa sillingi obusoba mu 90 bwasaasaanyizibwa ku Operation Shuja, gyebagamba nti tevangamu bibala wabula okufiiriza omuwi womusolo ennusu.
Bwetyo FDC enoonya okuwulira okuva mu Palamenti ku ngeri Uganda gy’eganyulwamu mu kusindika amaggye e Congo.