Amawulire

FUFA yegaanye nti aba Cranes tebabanja

FUFA yegaanye nti aba Cranes tebabanja

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2019

No comments

Federation of Uganda Football Association ekibiina ekiddukanya omuzannyo gomupiira mu gwanga, kiwakanyizza ebyogerwa abazannyi ba team ye gwanga the Uganda cranes nti babanja.

Abazannyi olunnaku lwe ggulo bediimye okutendekebwa, nga bagamba nti babanja akasiimo kaabwe kabasubizibwa ka bukadde 22 bwebawangula omupiira gwa Congo namalirira gebakola ku team ya Zimbabwe mu mpaka za AFCON mu kibuga Cairo.

Kati mu kiwandiiko ekivudde mu FUFA amakya ga leero, omugatte obubuwmbi 2 zezakozeseddwa okusasula abazannyi, nga buli yafunye obukadde 55 werwatukidde olunnaku lwe ggulo nga 2nd July, 2019.

Bano era bagamba nti abazannyi bazze babwa ensako eya buli lunnaku.

Wetwogerera nga Cranes yayaiseewo okuva mu kibinjaokudda amu mutendera oguddako, ngegenda kuzannya Senegal.