Amawulire

Gavt efulumiza kalenda yébyensoma omwaka 2023-2024

Gavt efulumiza kalenda yébyensoma omwaka 2023-2024

Ivan Ssenabulya

November 16th, 2022

No comments

Bya Damali Muhkaye,

Minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza kalenda y’ebyenjigiriza eyomwaka 2023-2024 egenda okugobererwa amatendekero gonna aga pulayimale, siniya n’ebyemikono okwetoloola eggwanga.

Bwabadde afulumya kalenda eno mu maka gomuk weggwanga e Nakasero, Dayirekita owebyenjigiriza ebyawamu Ismail Mulindwa agambye nti abayizi bagenda kuddamu ttaamu esooka omwaka ogujja mu February 2023 ekomekerezebwe nga 5 May.

Ate olwo taamu eyokubiri yakutandika nga May 29 ekomekkerezebwe nga 25 August ate eky’okusatu eritandika nga 18 September ekomekkerezebwe nga 1 December.

Mulindwa agamba nti amasomero gonna okwetoloola eggwanga galina okugoberera kalenda eno eyateekebwawo minisitule y’ebyenjigiriza.