Amawulire

Gavt eggumiza bannauganda ku bukuumi

Gavt eggumiza bannauganda ku bukuumi

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2023

No comments

Bya Daily monitor,

Gavumenti eggumiza bannauganda nti ebyókwerinda biri gguluggulu, yadde nga gavumenti ya bungereza yalabudde Uganda nti waliwo ebikolwa eby’obutujju ebitegekebwa okukolebwa mu ggwanga lino naddala mu bifo ebirimu abantu abangi.

Mu kiwandiiko kyabatadde ku mukutu gwabwe ogwa webusiti olunaku lweggulo, gavumenti ya Bungereza eraga nti abatujju bagenda kudamu okukola obulumbaganyi mu Uganda.

Ekiwandiiko ekiwabula bannansi ba Bungereza mu Uganda okwewala ebifo ebirimu abantu bangi, wabula tekirambika kifo obulumbaganyi we bugenda okukolebwa oba ekibinja kyábatujju abagenda okulumba naddi webanalumba.

Yadde nga bino biri bityo okukebera kwaffe ku kulaga nti abakuumi naddala mu bifo ebyólukale tebamanyi ku kulabula kwábatujju era tewali kiraga nti obukuumi bwóngeddwa yadde okukebera abantu.

Mukwanukula ebigambo bya Bungereza okulabula kukulabula kwóbutujju, ebitongole by’ebyokwerinda bitegeezezza nga Uganda bwerina obukuumi.

Omwogezi w’amagye ga UPDF n’ebyokwerinda, Brig Felix Kulaigye agamba nti okutiisibwatiisibwa kw’obutujju ku Uganda kufaananako era nga bwekiri mu mawanga amalala omuli ne Bungereza era bafuba okulaba nti obukuumi we buli.

Yye omwogezi wa poliisi Fred Enanga azzeemu obubaka bwa ssaabapoliisi bweyasooka okuwa nga alabula abantu okubeera abakkakkamu n’okubeera obulindaala.