Amawulire

Gavt entongoza pulogulamu egenda okuyambako abasuubuzi

Gavt entongoza pulogulamu egenda okuyambako abasuubuzi

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole kya Uganda Export Promotion Board (UEPB) nga kiri wamu n’ekitongole ky’ensi yonna ekya International Islamic Trade Finance Corporation (ITFC) ne ofiisi ya Trade Facilitation office eye Canada batongozza enteekateeka gye batumye Export Launchpad Uganda okuwa abasuubuzi abali mu bulimo obutonotono obudukanyizibwa abakyala ebikozesebwa n’okumanya engeri y’okugaziyamu akatale ka bizinensi zabwe munsi yonna.

Bwabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza pulogulamu eno mu kampala, akulira UEPB, Elly Twineyo, akiikiriddwa Michael Okecho, agambye nti enteekateeka eno egendereddwamu okukola ku bizibu ebikulu abakyala abasuubula ebweru w’eggwanga bye basisinkana ng’obutaba na bukugu, ensimbi eziddukanya bizinensi , ne mikisa okusobola okutuuka ku butale bw’ensi yonna.

Ategeezezza nti enteekateeka eno egenda kubaamu okutendeka abatendesi 50 okwetoloola eggwanga nga nabo bagenda kuwa emisomo eri abali mu bizinensi entonotonoabali mu kulima emmerenókugigatako omutindo kko ne bitongole ebirala

Abatandisi ba bizinensi 112 bakubangulibwa mu bukodyo obunabayamba okugaziya akatale kabwe mu Canada, ne mumawanga amalala.

Mu kutongoza entekateeka eno minisita omubeezi owóbweggassi Frederick Gume, yebaziza abavugirizi okuyambako mu kutumbula ebyamaguzi bya Uganda ebweru.

Ono agamba nti gavumenti amaanyi egatadde ku kyokukolera wano ebintu ebibadde biva ebweru ate nga bwetunda byekoze emitala wamayanja okwongera okugaziya kunyingiza ye ggwanga