Amawulire
Gavt enunudde obuwumbi 3.97 ezawolebwa abakyala okwekulakulanya
Bya Juliet Nalwooga,
Minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu olwaleero ezzizaayo mu nsawo yókulakulanya abakyala eya Uganda Women Entreneurship Programme (UWEP) obuwumbi bwa sillingi busatu n’obukadde 97.
Bwabadde akwasa abalina okuganyulwa munsimbi zino, minisita, Betty Amongi agambye nti kino kikwatagana n’ekiteeso kya kabineti ekyayisibwa nga 28th March, ssente eziddizibwa munsawo eno obutatuulamu wabula bongere okuziwola abalala.
Mu October wa 2022, gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ekikula ky’abantu yafuna obuwumbi bwa Shs34 okuva mu baganyulwa mu nteekateeka yokukulakulanya abakyala neya bavubuka eya Youth Livelihood Program.
Olwaleero minisita Amongi azzeemu okulaga obweyamo bwa gavumenti okwongera amaanyi mu bavubuka n’abakyala nga bayita mu nteekateeka zino kubanga omuntu teyetaaga musingi okusobola okufuna ensimbi zino.