Amawulire
Gavt erabudde akabwata obutambi bwa vidiyo ku bantu abatulugunya abaana abato
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti erabudde bannauganda akabwata obutambi bwa vidiyo ku bantu abatulugunya abaana abato ne babuteeka ku mikutu egyomutimbagano mu kifo kyokuvaayo okutaasa.
Kino kidiridde omuze ogwabantu okukwata obutambi ku baana abatulugunyizibwa oluusi bazadde babwe benyini okweyongera nga ne kikyasembyeyo ne mukyala owe Kisaasi, ku njegoyeyego za Kampala okulabikira ku katambi ka vidiyo nga akuba bubi nyo omwanawe olwóbutakomyawwo balansiwe owe 5000 nga amutumye.
Bwabadde ayogerera mu lukungana olugenderedde okwongera okubangula bannamawulire kunsonga za baana mu Kampala olutegekeddwa minisitule eyékikula kyabantu nga bali wamu naba Compassion International naba Child’s I foundation, amyuka kamisona avunanyizibwa kunsonga za baana, Franco Tolea agambye kino kikontana námateeka ne biragiro ku baana.
Ono agamba nti amateeka galagira abazadde, gavt nábantu mu bitundu gye bawangalira okukuuma baana kati omuntu yenna aleka eddembe lyomwana okutyobolebwa aba aziza omusango.
Tolea awabudde bannauganda okuvangayo okutaasa abaana abali mu butyabaga mu kifo kyokudda ebbali ne bakwata ebigenda mu maaso.