Amawulire
Gavt esabbiddwa okukozesa eby’obuggaga eby’omuttaka okuvugirira embalirira
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kisaba gavumenti ekozese eby’obugagga by’eggwanga eby’obutonde okusonda ssente z’embalirira y’eggwanga okusobola okuwewula bannansi ku musolo omungi ogubabinikibwa ku buli kantu.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Rubaga, Pulezidenti wa NEED, Joseph Kabuleta agambye, nti Uganda erina eby’obugagga eby’omu ttaka eby’enjawulo nga Zaabu, copper n’ebirala ebiyinza okutwalibwa ebweru w’eggwanga nébivaamu ssente ezisobola okukozesebwa okutuukiriza ebyetaago bya bannansi.
agambye nti ensonga lwaki Bannayuganda bakyali baavu, gy’emisolo egisusse gavumenti gy’ebateekako okusobola okuvugirira embalirira y’eggwanga kyokka eby’obuggaga eby’ensibo ebiri mu Uganda bisobola okuvamu akasente akawera akayinza okugonjoola ebizibu by’eggwanga.
Okusinziira ku bibalo, Uganda efulumya zaabu abalirirwamu obukadde bwa doola 17.2M, ekifuula eky’amaguzi kino okuba eky’omuwendo ennyo mu ggwanga.
Mungeri yeemu Kabuleta awadde gavumenti amagezi okukomya okusonyiwa abagwira emisolo okuva bwekiri nti era kikosa enkulaakulana y’eggwanga.