Amawulire

Gavt esabbiddwa okukyusa okusalawo kwayo ku balwanirizi béddembe

Gavt esabbiddwa okukyusa okusalawo kwayo ku balwanirizi béddembe

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwoga,

Ekibiina kya Human Rights Watch kisabye gavt ya Uganda okukyusa okusalawo kwayo ku kyókugoba ekitongole kye kibiina kya mawanga amagatte ekirwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga lino.

Ngennaku zómwezi 6th February 2023, Minisitule ya Uganda ey’ensonga z’ebweru yategeeza ofiisi yékitongole kino mu Uganda nti tegenda kuzza buggya ndagaano yaayo oluvanyuma lwe bbanga lya myaka 3 nga kiri mu ggwanga lino

Wabula mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa olunaku lwaleero, Oryem Nyeko omunoonyereza munnayuganda mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch agamba nti okuggala ofiisi y’ekibiina ky’amawanga amagatte evunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu, kigenderera kuziyiza abo abakola okutumbula ebyókuteeka ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu mu Uganda, era kiggyawo eddoboozi erivumirira enkola y’okutyoboola eddembe lyobuntu.

Ono era ategeezeza nga aba Human Rights Watch bwebawandiikira omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru Vincent Bagiire okumanya wa gavt weyimiridde awatuufu ku kyokuleka office za balwanirizi be ddembe okuva ebweru okusigala mu Uganda.