Amawulire

Gavt esabiddwa ku bantu abawangala nendwadde ezitasigiibwa

Gavt esabiddwa ku bantu abawangala nendwadde ezitasigiibwa

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2022

No comments

Bya Juleit Nalwooga,

Abebyobulamu basabye gavt okukola okunonyereza okuzuula omuwendo omutuufu ogwa bannauganda abalina endwadde ezitasigibwa era nga tezirabika kiyite Non Communicable Diseases mulungereza.

Okunsinzira ku Chris Kwizera, the Programs Officer; okuva mu kibiina ekirwanirira abantu abalina endwadde ezekikula kiti ekya Uganda Non Communicable Disease Alliance, agamba ebibalo ebiriwo biraga nti abantu abakola 31-32% bebafa endwadde zino wano muggwanga.

Wabula agamba nti omuwendo guno gulina okuba nga gwalinnya dda nga tuli kubibalo bikadde.