Amawulire

Gavt esabiddwa okugonjoola ebizibu ebiri mu Malwaliro

Gavt esabiddwa okugonjoola ebizibu ebiri mu Malwaliro

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ki Uganda people’s congress kyeraliikirivu olw’ebitongole bya gavumenti ebikulu nga Amalwaliro ebiri mu katyabaga oluvanyuma lwokusalibwako amazzi n’amasannyalaze olwamabbanja amangi agababanjibwa.

Kino kiddiridde amawulire okulaga nti eddwaliro lya Naguru ne Entebbe regional referral hospital ekitongole kya National Water and sewerage corporation kyagasalako amazzi olw’okulemererwa okusasula obukadde no bukadde bwensimbi ssente ezibabanjibwa.

Omwogezi wa UPC, Sharon Oyat agamba nti bino byegaseeko ebizibu ebirala ebiri mu malwaliro, okugeza obutaba na ddagala, obukuumi obutamala mu malwaliro nga wiiki ewedde, Ekyuma ekyekebejja ebitundu byómunda kyabbibbwa okuva mu ddwaaliro e Mulago.

Bwatyo asaba gavumenti eveeyo nenkola ezenjawulo okugonjoola ebizibu abebyobulamu byebasanga nga bakola egyabwe ne kigendererwa okyokutuusa empeereza ennungi.