Amawulire

Gavt esabiddwa okusala kumbalirira y’e by’okwerinda esengule abantu abali mu bulabe

Gavt esabiddwa okusala kumbalirira y’e by’okwerinda esengule abantu abali mu bulabe

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira abakulembeze babakyala okuva mu bibiina byobufuzi ekya Inter-party Women’s Platform, kisabye gavumenti okusala ku mbalirira y’ebyokwerinda okusobola okufuna ensimbi ez’okusengula abantu abali mu bitundu ebyazingibwako amataba.

Omulanga guno guzze oluvannyuma lw’amataba  okuddamu okusanyalaza e kitundu ky’e Kigezi ekiviiriddeko abantu okufiirwa obulamu n’okusaanyaawo ebintu.

Okusinzira ku bakungu, okubumbulukuka kwettaka kwakatta abantu 16 mu disitulikiti y’e Kisoro, Rubanda ne Rukiga, mu bitundu by’obugwanjuba bw’amaserengeta ga Uganda.

Akulira abakyala mu kibiina kya Democratic Party, Aisha Waligo, asabye gavumenti ekulembeze obukuumi bwa Bannayuganda era ejje mangu okutaasa bannansi abali mu bitundu ebitera okugwamu obutyabaga kubanga enkuba eteeberezebwa okwongera okufudemba mu mwezi guno gwonna.

Mungeri y’emu Waligo asabye Bannayuganda okukomya emirimu gyonna egy’abantu egivaako okwonooneka kw’obutonde bw’ensi bwekiba nti Uganda yakusimatuka ebibamba nga bino.