Amawulire
Gavt esabiddwa okuteekawo akakiiko ketegereze engereka yémisaala gyábakozi
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Forum for Democratic Change kisabye gavumenti okutondawo akakiiko akavunayizibwa ku kugereka emisaala gyábakozi.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold Kaijja, agambye nti waliwo obutali bwenkanya bungi ku ngereka yémisala mu bakozi ba gavt naba makampuni agómuntu ssekinoomu.
Awadde ekyokulabirako ekya bakansala mu lukiiko lwa KCCA okuba nti basing badokita okufuna omusaala omunene.
Ono mungeri yemu awakanyiza ekiteeso kya pulezidenti okwagala okuwa bannasayansi omusaala omusava ate ba-arts balekebwe ebbali.
Kaijja agambye nti eggwanga terisobola kuyimiriawo ku bannasayansi bokka
Ebibiina byobwannakyewa, abayivu n’abalala nabo bazze basaba gavt okuteekawo akakiiko aka Salary Review Commission okusobola okugereka emisaala gya bakozi ba gavt