Amawulire
Gavt esabiddwa okuteekerateekera ababundabunda okuva e Kenya
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ky’eby’obufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kisabye gavumenti okukola enteekateeka ennungamu mu kusembeza ababundabunda abava e Kenya.
Kino kidiridde amawulire okulaga nti ebikumi n’ebikumi by’abagwira basomoka okuyingira Uganda nga bayita ku nsalo e Busia ne Malaba wakati mu mbeera eyokulinda okulonda kwa omukulembeze weggwanga rya Kenya omugya okugenda okubaawo olunaku lw’enkya.
Abagwira abasinga obungi abadduse okuva e kenya kuliko Bannayuganda, abarundi, Banyarwanda, Abamerika, Abangereza n’abamu ku nzaalwa z’e Kenya.
Bano batya embeera eyobusambatuko eyaliwo mu kulonda kwa 2007 obwavaako okufa kwa bantu n’ebikumi n’ebikumi ne basenguka amaka gaabwe.
Bwabadde ayogera eri bannamawulire ku ofiisi za NEED mu Kampala, Omukwanaganya wemirimu gye kibiina kino mu ggwanga, Asuman Odaka agambye nti gavumenti erina okuba n’enteekateeka enzijuvu ku ngeri y’okusenzaamu ababundabunda abadduka nga tebafuuse kizibu eri ebitundu ebibakyaza nga bwe kyali mu 2007.
Awa amagezi nti wateekebwewo ekifo oba enkambi omwokutekebwa ababundabunda.