Amawulire

Gavt esabiddwa okuyigira ku Tanzania

Gavt esabiddwa okuyigira ku Tanzania

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kisabye gavt okuyigira kunkyukakyuka mu bukulembeze eyabadde e Tanzania oluvanyuma lwomukulembeze waayo John Magufuli okuva mu bulamu bwensi eno.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina e Najjanankumbi amyuka ssabawandiisi we kibiina, Harold kaijja agambye nti e Tanzania abaayo basobodde okufuna omukulembeze omuggya awatali mbeera ya butabanguko

Ono agamba nti mu kiseera kino Uganda yo terinaawo mukulembeze atekedwatekedwa obulungi okusikira Museveni singa wabaawo ekibaawo

Mungeri yemu kaijja agambye nti abakulembeze ku ssemazinga Africa balina okuyigira Magufuli abadde mu ntebbe akaseera katono naye nga alese omukululo gwamaanyi mu byenkulakulana by’ensiye