Amawulire

Gavt esabiddwa okwongera okwagazisa abaana abawala amasomo ga sayansi

Gavt esabiddwa okwongera okwagazisa abaana abawala amasomo ga sayansi

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Sentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku bigezo mu gwanga aka UNEB Mary Okwakol ayagala wagunjibwewo enkola  eyasobozesa abaana ab’obuwala okwongera okwettanira amasomo ga Science ku mutendera ogwa siniya ey’omukaaga.

Ng’ayogerera  ku mukolo ogw’okufulumya ebigezo by’abayizi aba siniya ey’omukaaga ogugenda mu maaso ku offisi ya President, Prof Okwakol ategeezezza nga abaana ab’obuwala bwebakyaali abatono abakola amasomo ga scince ku mutendera guno.

Agamba nti abakola essomo ly’okubala bakola ebitundu 6 n’akatundu kamu ku 100 ate abakola essomo lya Biology bakola ebitundu 15 n’obutndutundu 9 bwokka ku 100.

Agamba nti  Uneb ne Ministry y’eby’enjigiriza bakwatiza wamu banoonyereze ku kiki ekiviiriddeko embeera eno wabula okunoonyereza kwabwe tekunnavaamu bibala olw’ebbula ely’ensimbi.

Alabudde nti omuwaatwa wakati wa abawala n’abalenzi kyandizaalira eggwanga ebizibu nga omuwendo gw’abaana ab’obuwala abakola amasomo aga science bandiwunzika nga bagwereddewo ddala.