Amawulire

Gavt essomozebbwa okukulakulanya ekifo Janani Luwum weyaziikibwa

Gavt essomozebbwa okukulakulanya ekifo Janani Luwum weyaziikibwa

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Gavumenti esoomoozeddwa okukulaakulanya ekifo kya Wii Gweng, munnaddiini Janani Luwum weyagalamizibwa mu gomobolola ye Mucwini mu Kitgum District okufuuka ekifo ekisaanira era eky’ekitiibwa eky’ekijjukizo n’okulamaga.

Omulanga guno gukubiddwa, eyaliko senkagale wa UPC, ambasada Olara Otunnu nga ye ssentebe w’akakiiko akategesi kólunaku olwokujjukira aka St Janani Luwum.

Okusinziira ku Otunnu, kya nnaku nti olunaku luno terutwalibwa ngékikulu songa lwavako enkyukakyuka mu ggwanga lino, n’okukomekereza gavumenti ya Amin n’okununulibwa kwa Uganda okwaddirira.

Otunnu agamba nti kyewuunyisa nga wayise emyaka 46 bukya Luwum attibbwa, tewali kyamaanyi kikolebwa mu kitundu gyeyali azaalwa yadde mu ssaza lyeyawerereza.

Olwaleero giweze emyaka 46 bukya Luwum eyali Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya bangereza ku ludda lwa Uganda, Rwanda, Burundi ne Zaire attibbwa nga February 16th, nga waakayita akaseera katono ng’aweereza ebbaluwa eyali omuk weggwanga mu biseera ebyo Iddi Amin nga alaga nti wakubaawo okwekalakaasa ku bikolwa ebyokutulugunya bannansi, okutta abantu mu ngeri ey’ekimpatiira n’okubula kw’abantu baabulijjo mu ngeri

Olunaku lw’omwaka guno olwa St Janan Luwum olugenda okukuzibwa e Mucwini –Kitgum luli wansi w’omulamwa ‘United for service and growth.’