Amawulire
Gavt etegeka kugatta mateeka agafuga ebyámawulire
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti eyanjudde entegeka ez’okugatta amateeka agafuga abali mu kisaawe ky’amawulire.
Ekyama kino kibikkuddwa minister w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomusi oluvannyuma lw’okwemulugunya kwa bannyini mikutu gy’amawulire okuyita mu kibiina ki National Association of Broadcasters –NAB ku miwaatwa mu mateeka kwossa ebitongole ebingi ebibavunanyizibwako ebiwa ebiragiro ebyenjawulo.
Abadde ssentebe wa National Association of Broadcasters Kin Karisa anokoddeyo ebitongole bino okuli media council, the Uganda Communication Commission, ministry yebyamawulire nebirala.
Minister Baryomunsi ategeezezza nti government yabakanye dda ku ntegeka ezokugatta amateeka agakwata ku by’amawulire.
Yabadde mu nsisinkano ya National Association of Broadcasters eya buli mwaka ku hotel Africana in Kampala.