Amawulire
Gavt evudeyo enkola endala ezókuyamba abavubuka
Bya Juliet Nalwooga,
Gavumenti ng’eri wamu n’ekibiina ky’amawanga amagatte batandise enteekateeka endala ez’obukugu mu bavubuka okusobola okutumbula okuyamba abavubuka okudda engulu okuva mu buzibu obwava ku kubalukawo kwa Covid-19.
Bino byogeddwa minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Betty Amongi ku mukolo gw’eggwanga ogw’okukuza olunaku lw’abavubuka mu nsi yonna.
Ebikujjuko ebikubirizibwa pulezidenti Museveni bitegekeddwa ku ssomero lya Kigezi primary school
Amongi alajaanidde abakwatibwako okulaba ng’abavubuka bafuna ensimbi ku bbanja ate ku magoba amatono basobole okutandikawo bizinensi zaabwe.
Olunaku lwábavubuka lukuzibwa wansi womulamwa ogugamba nti okuvunuka okusomozebwa okwajja ne kirwadde kya covid-19 nókuteeka munkola ebirubirirwa byekysa wetunatukira omwaka 2023 ku lwokukyusa obulamu bwa bavubuka.