Amawulire

Gavt evudeyo nébinagobererwa eri abagala okutandika amasundiro gámafuta

Gavt evudeyo nébinagobererwa eri abagala okutandika amasundiro gámafuta

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti evudeyo ne biragobererwa eri abagala okutandikawo amasundiro ga mafuta mu ggwanga.

Kino kidiridde okwemulugunya nti bangi batondawo amasundiro g’amafuta mu bifo ebikyamu, era awatali kugoberera mateeka.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku Media Center mu Kampala, minisita webyettaka, okuzimba nenkulakulana yebibuga Judith Nabakooba, agambye nti okuvaayo n’okulambika kuno basoose kwebuuza ku bantu bonna abakwatibwako ensonga.

Mu bimu ebyetaagisa, agenda okuzimba esundiro lya mafuta atekeddwa okufuna Development Permit ne Building Permit ngalina nokulaga pulaani ye eri akakaiiko aka Physical Planning Committtee.

Batekeddwa okugoberera etteeka erya National Environment Act 2019, batekeddwa okwesuula Mita 200 okuva awali essomero, essinzizo, akatale, ekisaawe, eddwaliro ne bifo ebirala eby’olukale.

Anamenya amateeka gano wakusasula engasi yamitwalo 96 oba okusibwa emyaka 2 mu kkomera oba byombi.