Amawulire

Gavt eyanukudde America kunvumbo empya

Gavt eyanukudde America kunvumbo empya

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti evuddeyo ku nvumbo empya Amerika gye yatadde ku bakungu ba Uganda ng’egamba nti kino kyagenderedde kutiisatiisa kukakatika ku Bafirika omukwano ogwebikukujju ekitagenda kukola.

Bino yayogeddwa minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru weggwanga, Henry Oryem mu mboozi ey’akafubo n’ekitongole ky’amawulire ekya Reuters.

Yategeezezza nti envumbo empya ezaafulumiziddwa ku ntandikwa ya wiiki eno, zitunuulidde abakungu ba gavumenti abatannategeerekeka abagambibwa okutyoboola demokulasiya n’okunyigiriza ebibiina ebisuuliddwa ku mabbali omuli n’abawagira ebisiyaga.

Wabula Oryem agamba nti Uganda tesobola kusazaamu tteeka eryayisibwa mu kulwanyisa ebisiyaga mu ggwanga lino mu linnya ly’okukuuma obuyambi ne looni ezifunibwa okuva mu mawanga g’abazungu.

Minisita yeebuuza lwaki envumbo ezifaananako bwe zityo tezaateekebwa ku mawanga g’abawarabu abalina amateeka gegamu amakakali ku busiwuufu bwémpisa.

Yategeezezza nti singa Amerika egaana ababaka ba Uganda okugenda munsi yabwe bagenda kunoonya ebifo ebirala nga Shanghai oba Guangzhou, ng’essira aliteeka ku bungi bw’ebifo ebisikiriza okulambula.