Amawulire

Gavt eyimiriza okuteekesa munkola namba puleeti eza Digito

Gavt eyimiriza okuteekesa munkola namba puleeti eza Digito

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2023

No comments

Bya Busein Samilu,

Gavumenti eyimiriza okuteekesa munkola enteekateeka empya eya namba puleeeti zébidduka eza digito.

Enteekateeka eno ebadde erina kutandika olunaku lw’enkya, nga 1st july kati eyimiriziddwa oluvannyuma lw’ekiragiro ekivudde ewa kaliisoliiso wa gavumenti.

Amawulire gano gakakasiddwa minisita ow’emirimu ne byentambula, Fred Byamukama, oluvannyuma lw’akampuni eyapatana omulimo gwokuleeta kuno numba puleeti zino eza digito obutazituusa mu budde.

Ekiragiro kya kaliisoliiso wa gavt n’okulemererwa kwa kkampuni ya Russia, eya Joint Stock Company Global Security okugaba nnamba puleeti empya kyavuddeko olukiiko olw’amangu olwakubirizibwa minisita w’ebyokwerinda Jim Muhwezi era nga lwetabiddwamu abakungu ab’oku ntikko mu minisitule y’emirimu n’ebyokwerinda wamu n’abakungu ba URA.

Minisita w’ebyentambula asuubirwa okulangirira mu butongole ku nsonga z’okuyimiriza emirimu olwaleero