Amawulire
Gavt ezimbye appu egenda okulondoola bannauganda bankuba kyeyo
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti etadewo enkola eyókuyita ku mutimbagano okutaasa bannuganda abanonyabonyezebwa mu mawanga agebweru gye baddukira okukuba ekyeyo.
Kino kiddiridde bannauganda abali kukyeyo okukaaba entatera kungyeri embi bakama babwe gyebabayisamu ekivirideko ne banabwe okufiira ku mawanga.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda media center mu Kampala, minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi agambye nti gavumenti eriko appu gyezimbye egenda okulondoola abakozi bano nokumanya ekifo ekituufu gye bali eyambe abeetaaga okutaasibwa.
Kati bankuba kyeyo balina ku dawunilodinga app eno ku masimu gabwe basobole okulondolebwa buli we bali ate nga waliwo ne namba yesimu gyebalina okukubako nókuweereza obubaka obusaba obuyambi singa baba bafunye obuzibu
Agamba nti tekinologiya ono akola mangu nnyo okutuuka ku ddaala ly’okusindika buli ddakiika 2 ez’emboozi y’abakozi gyebanyumiza nga ne mukamawe ne bwaba amugyeko esimu obubaka obusaba obuyambi buba bwatuuse dda.
Okusinziira ku minisita tekinologiya ono kati ali mu kugezesebwa mu ggwanga lya Saudi Arabia, asabye bankuba kyeyo abali mu mbeera embi okugyeyambisa bafune okuyambibwa.