Amawulire
Gavt mugiweeyo akaseera ku bye Bbeeyi yébintu
Bya Rita Kemigisa,
Minisita wé byensimbi Matia Kasaija asabye bannauganda okuwa gavumenti akaseera okukola okunonyereza erabe kyeyinza okukolera ebbeeyi ye bintu eyekannamye
Bino abyogedde ayogerako eri ababaka ba palamenti mu lutuula lwa leero oluvanyuma lwomubaka wa Buzaaya county Martin Muzaale okwemulugunya ku miwendo gye bintu.
Kasaija agambye nti ensonga eno eri mu lukiiko lwa baminisita era nga pulezidenti mu bwangu wakubaako okuwabula kwakola.
Omubaka Muzaale asabye ebbago lye tteeka eritaasa bannauganda ku mbera eno erya consumer protection bill lireetebwe mu palamenti, abantu bataasibwe.