Amawulire
Gavt ne Sweden bakunonyereza kukivaako enkayana zéttaka
Bya Tom Angulin
Gavumenti, ng’eyita mu minisitule y’ettaka nga bali wamu ne University of Zurich Switzerland boolekedde okukola okunoonyereza mu ggwanga lyonna ku nsonga eziviirako enkaayana z’ettaka zisobole okukolebwako.
Enteekateeka eno wejjidde nga minisitule elwanagana n’emisango egy’ensonga z’ettaka ezitannagonjoolwa egyeyongera buli lukya ezivaamu okulwanagana, n’oluusi okufiirwa obulamu.
Binobyogeddwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja, bwabadde assa omukono ku ndagaano y’okutegeeragana wakati wa gavumenti ne yunivasite y’e Zurich okukola okunoonyereza kuno.
Agamba nti okunoonyereza kukulu nnyo mu kuyiiya n’okukyusakyusa kuba kiwa amawulire ku nteekateeka enegobererwa mu nkozesa y’ettaka, okutunda n’okukola ebintu nga obulimi.