Amawulire
Gavt yakwanjula alipoota ku bulumbaganyi ku Bayizi e Kasese
Bya Arthur Wadero,
Gavumenti olwaleero esuubirwa okwanjula alipoota kubutujju obwakolebwa e Kasese.
Kino kiddiridde palamenti olunaku lw’eggulo okulagira minisita w’ebyokwerinda okwanjula alipoota enzijuvu mu lukiiko olwaleero.
Alipoota eno egendereddwamu okunnyonnyola engeri obulumbaganyi obw’entiisa obwakoleddwa ku ssomero lya Mpondwe Lhubiliha secondary school mu disitulikiti y’e Kasese gye bwabaddewo, abayekera ne batafuna yadde abakuba ku mukono.
Okusinziira ku gavumenti, abantu abasoba mu 40 nga kubo 37 bayizi be baafiiridde mu buylumbaganyi buno ku wiikendi ate abalala badda engulu okuva mu malwaliro oluvannyuma lw’okufuna ebisago eby’enjawulo.
Sipiika wa palamenti Anitah Among nga asendebbwa omubaka wa Munisipaali y’e Kira Ssemujju Nganda, yawadde minisita w’ebyokwerinda Vincent Ssempijja ekatala okubanyonyola leero byonna ebikwata ku bulumbaganyi buno.
Okutuusa nga lipoota ya gavumenti eyanjuddwa ababaka ba Palamenti lwe bajja okufuna omukisa okuteesa ku nsonga eno.