Amawulire
Gavt yekyusuza ku tteeka lyóbuseegu
Bya Sebalu Mike,
Government etegeezezza nga bwejulidde ku nsalawo ya Court ya Ssemateeka eyakolebwa nga 13/08/2021 bweyavaayo newakanya obumu ku buwaayiro mu teeka elyaleetebwa Government erigenderera okulwanyisa obuseegu mu ggwanga.
Etteeka lino elimanyiddwa nga Anti-Pornography Act 2014, lyaletebwa n’ekigendererwa eky’okutondawo ebibonerezo eri abeera alimenye, okusimbira ekkuuli ebikorwa eby’obuseegu, okutondawo akakiiko akanalwanyisa nga obuseegu nobuvunanyizibwa obulala.
Wabula oluvanyuma lw’ebitongole binakyewa n’abantu sekinoomu okwekubira enduulu eri Court ya Ssemateeka, Court eno yakilaba nti waliwo obuwaayiro obwaali bukontona n’eddembe ly’omuntu okweyisa nga buli omu bwayagala.
Wano Government ng’eyita mu Ssabawolereza wa Gavumenti wesinzidde okujulira ensal eno n’ekigendererwa eky’okulaba nga etteeka lino liteekesebwa mu nkola nga tewali kilikuba ku mukono.