Amawulire
Gavumenti bagitabukidde ku kisaddaaka baana
Minisitule y’ekikula ky’abantu eteeredwa ku ninga olw’obutakola kimala kulwanyisa kisaddaaka baana mu ggwanga.
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu akakola ku kwemulugunya kw’abantu ab’enjawulo kategezezza nga minisitule bw’etudde obutuuzi nga abaana b’eggwanga bongera okussaddaakibwa awatali mateeka gakugira kivve kino.
Ssentebe w’akakiiko kano Margret Komuhangi mwenyamivu olwa minisitule eno obutakola kimala ku nteekateeka z’okulwanyisa ekivve kino nga banji ku beemitima emibi abasaddaaka abaana bakyayinayina.