Amawulire
Gavumenti bajititte mu mbuga olw’okukuba bannamawulire
Bya Ruth Anderah
Munnamateeka era omulwanirizi we ddembe lyobuntu Stephen Kalali addukidde mu kooti enkulu okubanja obwenkanya eri bannamawulire, abakuuma ddembe bebakakanako okubakuba ngebyoku ttale, wiiki ewedde Kyagulamyi bweyali agenze okuloopa ekiwamba bantu ku wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddembe lyobuntu, e Kololo.
Eno abakuuma ddmbe, balumba banamwulire abaali wabweru, nebabakuba emiggo mizbu.
Kati mu mpaaba ye, Kalaali ayagala kooti erangirie nti kyali kimenya amateeka, nokukoma ku gaumentiokuyita mu bitongole byayo ebikuuma ddembe obutaddamu kutyoboola ddembe lyabuntu, nokutulugunya bannamawulire abakola emirmu gyabwe.
Omuwandiisi wa kooti enkulu Jamson Karemani, essaawa yonna wakulaga ddi omusango lwegunatandika okuwulirwa.