Amawulire
Gavumenti bajitutte mu kooti olw’ebisale byobujanjabi bwa COVID-19
Bya Juliet Nalwooga
Banakyewa abatakabanira ensonga zebyobulamu, Center for Health, Human Rights and Development bawawabidde gavumenti olwokulemeerwa okulungamya ebisale ku bujanjabi bwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Bano batutte ssabawolrereza wa gavumenti mu kooti nabalala okuli minisita w’ebyobulamu naba Uganda Medical and Dental Practitioners Council akakaiiko akavunayizibwa ku basawo.
Bino webijidde ngemiwendo gyabalwadde gyongedde okulinnya, nabanytu abakafa baweze 781 bwezatukidde ennaku z’omwezi 22 June 2021.
Ate awamu abantu emitwalo 7 mu 5,537 bebakalwala okuva ssenyiga omukambwe lweyayaingira mu gwanga omwaka oguwedde.
Omukwanaganya wemirimu mu kitongole kya CEHURD Noor Nakibuka agambye nti basubira buno butekeddwa kubeera buvunayizibwa bwa gavumenti okutaasa ku banatu obutabbibwa ate mu mbeera eno eyakazigizigi.
Nakibuka agambye nti okugenda mu kooti basoose kufuna kwemulugunya okuva mu bantu abawerako, ku bisale ebyekimpatiira mu malwaliro naddala agobwananayini.
Olunnaku lweggulo, akulira akakiiko akaweebwa obuvunayizibwa okulwanyisa enguzi okuva mu maka gobwa pulezidenti Col Edith Nakalema yakoze okulabula eri amalwaliro agobwannanyini ku nsonga yeemu.
Yategezezza nga bakafuna emisango egigoba mu 500, ngabantu bemulugunya era ku bisale byobujanjabi bwa COVID-19. ebibasabibwa.