Amawulire
Gavumenti efulumizza ekiwandiiko ku Bundibuggyo- lyandiba eddogo
Gavumenti kyaddaaki efulumizza ekiwandiiko ku bulumbaganyi obwabadde e Bundibuggyo , Kasese ne Ntoroko nga buno bwalese abantu abasoba mu 100 nga bafu.
Ng’asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti, minisita w’eby’okwerinda, Dr Crispus Kiyonga agambye nti tebannakakasa kituufu kyavuddeko bulumbaganyi buno kyokka nga bakola kyonna ekisoboka okulaba nti kino tekiddamu kubaawo.
Kiyonga agambye nti bongedde eby’okwerinda mu kitundu nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Dr Kiyonga wabula agambye nti obulumbaganyi buno bwandiba nga buvudde ku ddogo, n’entalo eziri wakati w’amawanga mu bitundu bino.
Wabula minisita w’ebyokwerinda mu gavumenti erinze obuyinza Kaps Hassan Fungaroo agambye nti gavumenti yandibadde enonyereza ku bigambibwa nti bano bandiba abayekeera kubanga ebitundu bingi bizze bibaamu obulumbaganyi obutategerekeka