Amawulire
Gavumenti egyeewo ekyémisana mu masomero ga gavt
Bya Musasi waffe,
Gavumenti egyewo ebyókugaba ekyemisana eri abayizi mu masomero ga gavumenti aga pulayimale ne siniya.
Amasomero gano gabadde galiisa abayizi ekyemisana nga nabazadde babadde benyigiramu okuyita mu kuwaayo akasente oba ebintu ebikalu.
Kino kijjidde mu kiseera nga kigambibwa nti amasomero agamu gabadde gasaba ssente ez’okwongera ku mmere okuva mu bayizi ekivuddeko okwemulugunya ku nsonga eno.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku Uganda Media Centre mu Kampala, Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya pulayimale, Joyce Moriku Kaducu, akikkaatirizza nti okusomesa mu masomero ga gavumenti mu pulayimale ne siniya kwa bwereere era nti tewali muzadde yenna alina kusabibwa ssente kakubeere ku mmere oba ensonga endala yonna.
Minisita alambuludde nti ekiteeso kino kyakolebwa gavumenti nelagira kati abazadde batandike okusibirira abaana babwe entanda ye mmere nga bwegwali edda gyebanalyanga ekyemisana kusomero.