Amawulire
Gavumenti eremereddwa okulungamya ebisale by’essomero
Bya Ivan Ssenabulya
Gavumenti ekyanenyezebwa olwokulemererwa okulungamya ebisale mu masomero, nagaayo gewagira.
Kino abamu bagamba nti kireseewo omuwaatwa mu byenjigiriza bya Uganda, nga kyasigalira eri abalina ssente okufuna obuwereza obuli ku mutindo.
Kino kyekyabagula omubaka omukyala owa disitulikiti ye Tororo Saraha Opendi, okuleeta ekiteeso eri palamenti wiiki ewedde, ekikwata ku bbisale obutapalukanga.
Agamba nti waliwo amasomero agawagirwa gavumenti, waddenga ssi yegadukanya awamu nayenga babasasulire abasomesa nabakozi abalala, wabula era nebapapluuula ebisale.
Akulira ebyomutindo mu ministule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Kedrace Turyagenda, agambye nti wewaawo guli gutyo, obuwereza bwa gavumenti tebumala mu mbeera eno.
Agambye nti okusomozebwa kwekuba nti bano tebafuna ssente ezemirimu gyenkulakulana oba capitation grant.