Amawulire

Gavumenti eremereddwa okumatiza abasawo badde ku mirimu

Ivan Ssenabulya

November 6th, 2017

No comments

Bya Ndaye Moses

Gavumenti eremereddwa okumatiza abasawo badde ku mirimu okuva mu kediimo kebalimu.

Ssbaminista we gwanga Dr. Ruhakana Rugunda assisinkanye abasawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago wabula, byonna byabaddenga abagamba nga bibagwa nkoto.

Ssabainista asabye abasawo bano baddeyo ku mirimu, nabasubiza nti babakolera entegeka basisinkane omukulembeze we gwanga nga 17th omwezi guno, wabula byona abaddenga siwa ensaano ku mazzi.

President wekibiina ekitaba abasawo ekya Uganda Medical Association, Dr. Ekwaro Ebuku ategezeza nti ssi bakudda ku miirmu kubanga ssabaminista alemereddwa okubamatiza ku nsonga zaabwe zebabanja okuli emisaala okujongeza nebirala.

Kinajjukirwa nga October 9th abasawo bawa gavumenti ssale ssale owolwaleero okuba nga bakoze ku nsonga zaabwe.

Bino webijidde nga nabawaabi ba gavumenti bakyeremye okudda ku mirimu bakyagenda mu maaso nakediimo bwebassa wansi ebikola nga nabo babanja misaala nokulongoosa embeera zebakoleramu.