Amawulire
Gavumenti esambazze poliisi kubya banka enkulu
Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti ekubaganye empawa nekitongole kya poliisi ku bya vulugu ali mu banka ye gwanga enkulu.
Olunnaku lwe ggulo omwogezi wa poliisi Fred Enanga yakakasizza, okunonyereza kwebaliko ku banka eno, nga kigambibwa nti waliwo abakulu abakola ekkobaane, mu kukuba ensimbi ze gwanga, nebaleteramu enjawulo eyaabwe eri mu buwumbi 90.
Wabula wabadde ayogera ne banamwulire ku media center, owogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, agambye nti nga gavumenti bbo banonyereza ku byamaguzi ebyali bitatekeddwa, byebatikka ku nnyonyi okutuuka kuno ssi nsimbi.
Opondo agambye nti Enanga byeyayogedde, bulimba obuwedde emirimu era balagidde, ssabapoliisi we gwanga okusazaamu, ekiwandiiko ekyasomeddwa.