Amawulire
Gavumenti etabuse ku bya Desire- Akwatibwe
Gavumenti eyisizza ekiragiro ekiyimiriza emikutu gy’amawulire okuwandiika ku butambi bw’obuseegu obw’omuyimbi Desire Luzinda
Bino bisaliddwaawo mu Lukiiko wakati w’abakulu mu poliisi ne minisita akola ku byempisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo
Poliisi era eragiddwa okukwata Luzinda okunyonyola wwa gyeyekubisiza ekifananyi kino na lwaki yakikola
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti kino kikoleddwa okulaba nti ebifananyi by’obuseegu bitangirwa okutambula.
Bbo abantu basatu ababadde batunda entambi z’obuseegu bavunaanidwa era nebatwalibwa e Luzira.
Bano okuli Ali Shamidu Ssekanjako, Carol Namutebi wamu ne Farooq Lubwama baleeteddwa ku kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Alaali Muhirwa emisango nebagyegaana.
Kigambibwa nti bano ne banaabwe abalala abatanakwatibwa ng’ennaku z’omwezi 17th Oct 2014 ku kizimbe kya Zai plaza wano mu Kampala basangibwa nga batunda obutambi bw’obuseegu ekintu ekimenya amateeka
Omulamuzi abasindise e Luzira okutuuka nga 9 omwezi ogujja ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.