Amawulire

Gavumenti etongoza kawefube owókwongera okuyitimusa ebyóbulimi

Gavumenti etongoza kawefube owókwongera okuyitimusa ebyóbulimi

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti okuyita mu yafeesi ya ssaabaminisita evudeyo ne kawefube owokwongera okutumbula ebyobulimi nóbulunzi mu ggwanga ne kigendererwa ekyokwongera okuwagira ababirimu okubifunamu ensimbi eziwera nókubaawo obungi bwemmere mu ggwanga.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu ofiisi ye mu Kampala Ssaabaminisita, Robinnah Nabbanja, ategeezezza nti eno nkola ewomedwamu omutwe omukulembeze weggwanga, egenda kukolebwa ebitongole bingi era ng’essira ligenda kussibwa ku kwongera ku bikolebwa, okulwanyisa endwadde, n’okweyambisa technologia owomulembe mu byobulimi.

Annyonnyodde nti kampeyini eno egenda kutandika wiiki eno mu bendo bendo lya Mubende, ng’atandikira ku disitulikiti y’e Mityana, Kasanda, Kyankwanzi, ne Kiboga olwo atalaage ebitundu bye ggwanga ebirala.

Mungeri yeemu minisita omubeezi ow’ebyobulimi Bwino Kyakulaga, ategeezezza nga gavumenti bwevuddeyo nábakugu mu byobulimi nga bano nabo bakutalaaga eggwanga nga basomesa abalimi kye balina okukola omuli kungeri yókwongera ku bungi byebyo byebakola, okwongera omutindo, ku byamaguzi byabwe ne birala.

Kaweefube ono era agenda kugenderera okuwagira abalimi abasumuka okudda ku kyokulima emmere eyokutunda ate obudda mabega ku kyokulima eyokulya mu maka gabwe.