Amawulire
Gavumenti etubidden’emirambo
Gavumenti ekyatubidde n’emirambo gy’aba Congo ababbidde bwebabadde badda ewaabwe
Minisita akola ku bigwabitalaze, Eng Hillary Onek y’ategeezezza bino bw’abadde asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti.
Minisita agambye nti yadde basobodde okunyulula emirambo gya bantu 107, emirambo egimu gikyalemedde ku nsalo ya Uganda ne Congo nga gavumenti yaayo yagaanye okugitwaala
Onek agamba nti gavumenti ekyanoonya engeri bano gyebagenda okuziikibwaaki
Aba Congo abali mu 250 beebali ku lyaato eryabbira kyokka nga abaddukirize basobodde okuzuula emirambo 107 emirala gikyabuze
Abasinga ku balabiddwa babadde baana.
Kwo okwekebejja emirambo egikyaali wano kukyagenda mu maaso
Aduumira poliisi y’oku mazzi, James Apola agamba nti abakungu okuva mu ofiisi ya ssabaminista bakwataganye ne banaabwe okuva mu Congo okulaba nti bazzaayo emirambo.
Bbo abaddukanya embalama z’enyanja basabiddwa okunyweeza eby’okwerinda ku Nyanja.
AKulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti amaato agattikka akabindo galina okukomwaako kko n’abo abasabaala nga tebambadde layifu jaketi