Amawulire

Gavumenti evudde mu Ongwen

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

nyombi thembo

Gavumenti esuubizza kkooti y’ensi yonna obuyambi bwebetaaga mu kuwulira omusango gw’eyali omuyeekera wa Kony nga ono ye Dominic Ongwen.

Nga ayogerako ne bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, ssabawolereza wa gavumenti  Peter Nyombi ategezezza  nga bweyaweerezza edda ebbaluwa eri kkooti y’ensi yonna okulaga obumalirizu ku nsonga eno.

Nyombi ategezezza nga gavumenti bwetalina kigendererwa kyonna kyakuwolereza Ongwen mu kkooti y’ensi yonna kubanga emisango abayeekera ba Knoy gyebazza gizingiramu amawanga amalala.

Nyombi akikatirizza nga eyali omuyeekera ono bwatayinza kuweebwa kisonyiwo nga kkooti y’ensi yonna y’esalawo oba emusonyiwa nga okumuwozesa kuwedde.

Ab’enganda ba Ongwen Ongwen bazze balaajanira gavumenti okumuwa ekisonyiwo oba kale bamuvunanira wano mu Uganda.

Nyombi agamba gavumenti yaakuteekawo akakiiko akagenda okuyamba kkooti y’ensi yonna ku buli kyeyetaaga ku musango gwa Ongwen.