Amawulire
Gavumenti eyongedde okulumiriza Kiyingi
Waliwo abasiraamu abalala 11 bano bagguddwaako misango gya butujju
Bano bakwatibwa omwezi oguwedde nga kigambibwa nti beebaluka olukwe olutta Sheik Mustafa Bahinga e bwebajja ne Sheik Daktoor Muwaya e Mayuge.
Ssabawaabi agamba nti abavunaaniddwa baali bakolagana butereevu ne Dr Aggrey Kiyingi okutondawo ekibinja ky’abayekeera ekya Federal Alliance .
Bano kigambibwa okuba nti Kiyingi yeeyali abawa ensimbi ezitta abasiraamu kko n’emotoka n’emmundu zebaakozesa
Bino bizze nga Kiyingi yakalangirira nga bw’agenda okwesimbawo.