Amawulire

Gavumenti tekoze kimala ku basiraamu- Bakulembeze

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Kamoga new

Gavumenti esabiddwa okuyingira mu nsonga za ba maseeka ababuuzibwaawo abantu abatannaba kutegerekeka negyebuli kati.

Ng’ayogerera mu kusaala Juma, akulira omuzikiti gwe Nakasero Yunus Kamoga agambye nti gavumenti tekoze kimala kukuuma bakulembeze b’abasiraamu ate ng’ekimanyi nti waliwo entalo.

Ono agamba nti abo abakwatiddwa kirungi nebatwalibwa mu kkooti bwebaba nga baliko omusango gwebazizza.

AYongedde okusaba abayisiraamu okwegatta mu kaseera akazibu kano.

Ba maseeka ababuzibwaawo kwekuli Twaha Kawooya, Abdul Salaam Ssekayanja , Yusuf Kakande Ssemakula ne Twaha Ssekitto .

Bino bibadde biri biti ab’akakiiko akalwanirira edembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission nebasaba polissi okwongera amaanyi mu kunonyereza ku kutemula abakulembeze b’abayisiraamu okusinga okwekwasa abayeekera ba ADF bokka.

Akulira akakiiko kano Meddie Kaggwa agambye nti ettemu lino lyandiba nga liva ku mundu enyingi eziyitiridde mu bantu naddala mu bitongole eby’obwanakyewa ebikuuma abantu.