Amawulire
Gavumenti ya Burkina Faso bagitwala- abantu bakoowu
Ekiri mu ggwanga lya Burkina Faso, ebintu bitabuse ng’abeekalakaasi balumbye palamenti nebagitekeera omuliro nga bawakanya eky’okwongezaayo ekisanka ky’omukulembeze ali mu ntebe.
Omukulembeze ono Blaise Kampore amaze mu buyinza emyaka 27 ng’abadde ayagala yeeyongezeeyo ekisanja
Mu kibuga ekikulu eky’eggwanga lya Burkina Faso, ekitebe ky’ekibuga kitekeeddwa omuliro,kko ne wofiisi z’ekibiina ekiri mu buyinza
Amaggye gategeezezza ng’abeekalakaasi bwebatuuse ne mu palamenti munda yadde ttiyagaasi abadde awandala okukira enkuba
Palamenti ebadde atudde okukyuusa ssemateeka okusobozesa omukulembeze ali mu buyinza okwesimbawo omwaka ogujja