Amawulire
Gavumenti yakunyonyola ku bye Bundibuggyo enkya
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bassizza gavumenti ku ninga okunyonyola ku bigenda mu maaso e Bundibuggyo ne Kasese.
Abantu abasoba mu kikumi beebakafiira mu bulumbaganyi buno obwakoleddwa nga buva ku njawukana mu mawanga.
Omubaka we Kasese omukyala Winnie Kiiza ne minisita akola ku by’okwerinda mu gavumenti y’ekisikirize Kaps Fungaroo beebuzizza lwaki gavumenti esirise yadde okubaako by’etegeeza palamenti.
Wabula ssabaminista Amama Mbabazi anyonyodde nti babadde bakyagezaako kugatta mawulire gonna era ng’olunaku lw’enkya bakuleeta ekiwandiiko ekitongole nga sipiika bw’abalagidde
Bwo obusinga bwa Rwenzururu bwesambye ebyogerwa nti bulina kyebumanyi ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku disitulikiti ssatu mu bugwanjuba bw’eggwanga.
Katikkiro Noah Nzaghale agamba nti Omusinga Wesley Charles Mumbere naye abazigu bano baali bagaala okumulumba kyokka n’asumattuka.
Katikkiro agamba nti n’olubiri lwa Mumbere ku luguudo lumanyiddwa nga Kibanzanga mu kibuga kye Kasese nalwo lwalumbibwa ku lw’okusatu lwa ssabbiiti ewedde
Bbo abapoliisi babiri abakubwa amasasi e Bundibuggyo bakyanyiga biwundu mu ddwaliro e Mulago
Emmanuel Yiga ne munne ategerekeseeko erya Nuwagaba bakyaali mu mbeera mbi