Amawulire

Gavumenti yakuzimba obutale obulala 10 mu Kampala

Gavumenti yakuzimba obutale obulala 10 mu Kampala

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2023

No comments

Bya Mikse Sebalu. Minisita Omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ategeezeza nga gavumenti bwerina enteekateeka endala ey’okuzimba obutale obulala 10 mu bitundu by’ekibuga ebyenjawulo.

Obutale buno bugenda kuzimbibwa mu buli division okukendeeza engendo banna kampala zebatambula okujja masekati ekiviirako akalipagano k’ebidduka n’omujjuzo gw’abantu mu Kibuga.

Kabye agamba nti ngojeeko okukendeeza omugotteko, era baagadde okutonderawo banna kibuga emilimu nga bafunirwa webakolera mu ngeri etali ya dukadduka.

Ekibuga Kampala wetwogerera nga kirina omugatte gwa butale 16 nga bwonna kati buddukanyizibwa KCCA.

Buko kuliko  ak’e Wandegeya, Owino/St. Balikudembe, Nakasero, Bugoloobi, Nateete, Busega, ne Nakawa.

Obulala y’e Kiswa, Luzira, Usafi, Kasubi, Kamwokya, Kinawataka, Kiseka, Namuwongo I, Numuwoongo II.

Mu ngeri yemu, Minisita Kyofatogabye alabudde banna Kampala ng’okukwasisa amateeka ku bamala gamansa kasasiro bwekutandika essaawa yonna.

Minisita agamba nti okusomesa banna kibuga kugenda mu maaso ng’amangu ddala bagenda kutandika okukwata buli anasangibwa ng’amansa kasasiro buli wasanze.

Agamba nti kasasiro kizibu kinene nnyo ekiviirako n’okwanjaala kw’amazzi olw’okuzibikira kw’emifulejje olwa kasasiro amala gaansibwa.

Ategeezezza nga bwebagenda n’okuteekesa mu nkola ekilagiro ky’omukulembeze w’eggwanga eky’okuteeka ebipiba bya kasasiro mu bugazi obusaanidde wabule ekyekwaso.

N’abatambulira mu bidduka ne bannyinibyo nabo bajjukiziddwa okwewala agamala gamansa kasasiro kuba nabo etteeka lyakubatwaliramu.

Abadde ku offisi ya saabaminisita  nga alabika ebituukiddwako gavumenti mu myaka 2 egyekisanja kino, ng’enteekateeka eno yakukomekkerera nga 26/05.