Amawulire

Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okukola eddagala erigema COVID-19

Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okukola eddagala erigema COVID-19

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okuzimba ekkolero erinakola eddagala, erigema ssenyiga omukambwe.

Kino kyabikuddwa minisita webyensimbi Matia Kasaija bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gya gavumenti, egyokulwanyisa ssenyiga omukambwe.

Ababaka ku kakiiko kano akakaubirizibwa omubaka we Bugweri, Abdul Katuntu batadde Kasaija ku nninga okunyonyola lwaki, gavumenti esasanya obulindonobulindo bwensimbi mu bintu ebitagasa.

Ssentebbe wakakiiko omubaka Abdul Katuntu agambye nti gavymenti yakasasanya obwesedde 4 okulwanyisa COVID-19, wabula obulwadde bukyaliwo, ngagambye nti essira betaaga okuliteeka ku kugema abantu.