Amawulire
Gen. David Sejjusa akomyeewo ku butaka
Amangu dala nga Gen David Ssejusa kyagye akomewo kubutaka amakya ga leero , abasengejja ensonga bamutunuulide nga alina ekigendererwa ekyeetaga okunoonyerezaako n’obwegendereza .
Eyaliko ssenkagala wa FDC Dr. Besigye yoomu kubasoose okwanirza amadda ga ssejusa , nga ono obubakabwe obubaka obufunze abuyisizza kumukutu gwa Twitter
yye omukenunuzi wensonga zebyobufuzi Julius Lebo atubuulide nti kyandiba nga ssejuza yakozesebwa nga kamasu okukendeeza kubalae ba government nga okulonda kwa 2016 tekunatuuka , kuba eno ebade nkola ya president museveni ebanga lyona.
Wabula newankubade guli kutyo yye omwogezi wa ssejusa ono yye Moses Bigirwa asambaze eby’okubaako enteseganya ezaatukidwako wakati wa ssejusa ne president museveni, natutegeeza nti ono akomyeewo kunyuka magye .
Kinajukirwa nti ono Kukissaawe e ntebe atonye ku saawa mwenda ogw’ekiro, nayaniruzibwa akulira ekitongole kya CMI Brig Charles Byakahumura nakulira ISO Brig Ronnie Barya bwatyo natwalibwa E sembabula mukaseera kano gyali .
Tutegeezedwa nti ono azze ayambade ngoye z’abulijjo, era nga anekedde mu suutiye, nategeeza nga bwazze okusaba anyuke amagye mumirembe , kuba nga lino demebelye ely’abuntu erimuweebwa mu ssemateeka .
Tukitegedeko nti ensonga eno yategeezedwa kumukulembeze we gwanga, kyoka yye Gen Kale Kaihura akulira police teyakitegedeko.